Abambowa ba Ndodooti abaali batutwala mu ttambiro okututta, bwe twatuuka mu masaŋŋanzira, omu ku bo n’asumulula ensawo yange kazzi n’ettu lya mmula wange mwannyinaze Komunaku gwe yansibirira, lyasumulukuse dda, mmula asaasaanidde mu nsawo yonna. Bwe yali aggyamu ebintu kinnakimu, mmula n’amusensera mu nnyindo anti emyasi ne gitta egy’okumukumu, amaziga jjulujjulu, eminyira nnyirinnyiri, munne bwe yamusemberera alabe ekimwasimuza, naye n’assa okwo. Omumbowa oli eyasooka okusumulula ensawo yali yeesangula amaziga, kaamulali n’amugenda mu maaso. Naye bwe yayimba okubalagalwa n’okusonsomolwa wamma ennamusa n’etuuka ku nnyooge. Baalwa edda ne baŋŋamba mbannyonnyole nga bwe guli, ye munnange Mikolo eyali omwangu okusinga kwe kubaanukula nti, ‘Bassebo nno mufudde bufi anti mujja kubeerera ddala bwe mutyo okutuusa olukuusi lwe lulibaggweerako. Ggwe kale bwe banaaba bamaze okututta, ani alibanogera omukuduulu ogulibasawula?” Omumbowa owookubiri n’aboggola nti, ‘Sirika era mutuvumule mangu mmwe bakalibulogo sikulwa nga tubattira wano!’ N’asemberera Mikolo ng’agaludde effumu lye. Nze kwe kuseka sso nga nsesa luggumuggumu ne mmugamba nti, ‘Olowooza bw’onootuttira wano tojja kufa, kale mututtire wano anti mpaawo magombe g’azza. Munaaba mutuwonyezza n’olugendo okufa nga tukooye. Ko Mikolo nti, ‘Mbadde wuuyo wagolodde na dda effumu, olinda ki atanfumita olwange luggwe! Kyokka jjukira nti okututtira wano oba eri gye mututwala tekijja kubawonya.
Naye baali bakyazuzumba n’okwekalamula nze ne nziguka ku magezi agaatuwonya. Kye nakola kwe kwolekera omumbowa owookubiri eyali ayimiridde awo ng’asirise ebbanga eryo lyonna. Bwe namala okutemya ku Mikolo asirike, ne mmugamba nti, ‘Wamma basajja battu tujja kubavumula anti nammwe si mmwe mwatusalidde ogw’okufa wabula mutuukiriza kiragiro kyabaweereddwa. Kale mmwe tunaababonyaabonyeza ki? Leero tunaafuuka kiiso kya mbuzi? Ebigambo ebyo nabyogera mpola ddala nga buli kimu nkisimbako amannyo era nga nkiggumiza kyokka nga mbuusabuusa oba omutego gwe nali mbasembereza tebaagulengere kugwebalama. Bwentyo nga bwe nfuuyirira kannasswi, ne mbasaba banteewuluze ku mikono ndyoke mbaggyire mu nsawo eddagala ery’okubavumula. Ko omumbowa oli nnalukalala nti, ‘Litulagirire naffe tulina engalo eziriggyamu. Oyagala tukusumulule oyongere okuloga? Ko munne: Olina agatambaala ebitambo ebinaakuggya omusaayi mu matu! Ono omusajja gwe tusibye emiguwa ku magulu asobola atya okutuddukako, ne bwe tutamusumulula mikono ayinza okwongera okutuloga, kale eno endwadde egenze okutukwata tumaze kumusumulula mikono? Mpozzi nga ggwe tolumwa nnyo naye nze mpulira ng’amaaso agambuuka mu kiwanga!’ Nga bamaze okwogera bokka na bokka mu kaama ebigambo bye saamanya, oli nnalukalala n’ajja ansumulula emikono n’ankwasa ensawo yange gye yakwasa obusongezo bw’engalo era gye yampeereza ng’atunudde ekimbalimbali. Ng’amaze okugimpa, nabayita basembere we ndi ne basembera. Nabakuba amabega ne nningiza mu nsawo ng’alina kye saagala balabe, ne njoola olubatu lwa mmula nga tebannategeera na kye nkola ne nkyuka omulundi gumu ne ndubametta lwonna mu maaso ne gubula asala. Omu yali ankunuukiriza anteme, n’atema munne, baabo bambalaganye ebigwo bisse, kino ky’ani, ky’ono, ky’ani kya mulala. Bwe nali nkyatangaaliridde mbatunuulira nga bwe beekuyenga, ne nzijukira obulamu ne mmagamaga kye nnaasazisa emiguwa kazzi nga ne Mikolo yagguse dda mu kirowoozo kyange kwe kuŋŋamba nti, ‘Kwata effumu eryo erikuli okumpi osazise eryo.’ Omu ku bambowa kwe kugamba nti, ‘Ssebo tosala’ era n’ayita munne amuyambe kubanga yalowooleza ddala ng’alwana nange era nga nze Mikolo gwe yali awa amagezi mmusazise effumu......
Leave a comment
Your email address will not be published. Required fields are marked *